Bya Rita Kemigisa
Gavumenti eweredwa amagezi okweyambisa amateeka agaliwo agakwata ku batabufu b’emitwe okulaba bannabyabufuzi abaliko obuzibu mu kifo ky’okubakaka okubagyako omusaayi okuzuula oba emibiri gyabwe girimu ebiragalalagala.
Kino kidiridde olukiiko lwa baminisita okuyisa ekiteeso nti wabeewo ennongosereza mu mateeka gebyokulonda nga buli ayagala okwesimbawo asooka kukeberebwa oba talina biragalalagala mu mubiri gwe
Wabula omubaka w’abavubuka mu palamenti Anna Adeke agamba nti okukebera abagala okwesimbawo kirinyirira eddembe lyabwe eryokwekumira ebyama byabwe.