Skip to content Skip to footer

Gavumenti eweze okukuba ebiriroriro

Bya Barbra Nalweyiso

Gavumenti erabudde abadigize abeesunze okwoca ebipiira nokubinuka amasejjere, mu kwaniriza mu kumalako omwaka mokwaniriza omujja.

Minisita w’ebyamawulire, sayansi ne technologiya Judith Nabakooba asinzidde Mityana n’ategeeza nga gavumenti bweweze ebbinu eryo nokubwatula ebiriroliro, mu kiro kya 31.

Nabakooba agambye nti ekirwadde kya Covid-19 kitandise okuwanika amatanga, nga tebakyayagala yadde abantu okwetaba awamu, kubanga kiteeka obulamu bwabantu mu kabi okulwala.

Nnabakooba era agambye nti okuyimiriza okulonda tekisoboka kubanga obudde buweddeyo, ngakakiiko k’ebyokulonda kekalina okusalawo ekyenkomeredde ku mbeera eriwo.

Leave a comment

0.0/5