Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole ekibunyisa amasanyalaze mu gwanga, ekya UMEME kitegezezza nga bwebayimiriza okusala Yaka kuba kasitoma, nga bwebalagiddwa gavumenti.
Ekitongole ekibatwala, Electricity Regulatory Authority (ERA) babalagidde kino basooke bakiyimirize nga batandise nokunonyereza.
Bangi kuba kasitoma babadde bemulugunya ku uniti ezitawera ezibaweebwa, ng kino kibaddewo wakati womwezi gwokusatu nomwezi gwokuna.
Kati omogezi wa UMEME, Peter Kauju agambye nti kino kyali kigendereddwamu okuzza ku nsimbi zebaali bafiriddwa, ngabamu baali babawadde unit nnyingi okusinziira ku zebaali bagula.
Agambye nti kyali kivudde ku kugotanyizibwa okwtauuka ku byuma byabwe, mu bbanga eroyise.