Bya Ritah Kemigisa.
Minisitule ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bweyetegese ekimala okulaba nga okulamaga kwe Namugongo kubeera kwamirembe.
Dr Henry Mwebesa nga ono yakola ku by’obujanjabi mu minitule eno agambye nti ebikozesebwa byonna mukujanjaba okuli edagala byatuusedda mukifo kino okulaba nga mpaawo ajula.
Ono agambye nti abasawo 150 bebali kukiggwa ky’abakatolika, songa abasawo 60 bebatekeddwa kukiggwa ky’abakulistayo , nga kwogasse n’abalala 40 abagenda okudukirira ebigwa tebiraze.
Ono mungeri yeemu agamba nti waliwo n’abakugu abalala 10 abagenda okutekebwa ku milyango nga bano bagenda kukebera bulwadde bwa Ebola
Mubilala byebategese mwemuli ne ambulances 7, songa endala 5 zigenda kuba mumakubo.