Bya bubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 25 mu district ye Kaliro yesse oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula omutwalo 1, zabadde yewola ku muganda we.
Omugenzi ye Michael Matovu ngabadde mutuuze ku kyalo Bugonza mu gombolola ye Namugongo e Kaliro.
Taata womugenzi Henry Isiko agambye nti obo yakozesezza obutwa okwejja mu budde.
Atwala ebyokunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Kaliro David Agi akaksizza okufa kwono, era akirizza abenganda baziike.