Skip to content Skip to footer

Kabaka akuutidde abakulembeze okukuuma eddembe lyóbuntu

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja kabaka wa Buganda asabye abakulembeze okuyigira ku byafaayo okusobola okukulembera obulungi bannansi mu mazima nobwenkanya.

Empologoma okwogera bino abadde ku mikolo egyokujaguza amefuga ga Buganda agomulundi ogwa 59 mu lubiri lwe.

Ono agambye nti sikyabugunjufu okukumpanya ensimbi zomuwi womusolo awatali kubawa nkulakulana essaana nokwekobaana ne bamusiga nsimbi okunyaga obuggaga bwensi eno

Ono asabye abavubuka bayambibweko okulwanyisa ebbula lye mirimu nokulaba nti ebitundu ebimu tebisinga binabwe mu nkulakulana wabula byonna bifibweko.

Asabye abobuyinza okuteeka ekitiibwa mu ddembe lyobuntu.

Leave a comment

0.0/5