Bya Moses Ndaye,
Eyavuganya kuntebe eyobwapulezidenti mu kalulu akakagwa Joseph Kabuleta atiisiatiisiza okutwala gavt mu mbuga za mateeka singa kagitanda ne langirira omuggalo ogwokubiri.
Ono ategezeza bannamawulire nga bwalagidde munnamateekaawe Daniel Walyemera okuwaabira gavt singa etekawo omuggalo olwekirwadde kya covid-19.
Kabuleta okuvaayo bwati kidiridde omuteesiteesi omukulu owa minisitule eye byobulamu Diana Atwine okulabula bannauganda ku muggalo omulala oluvanyuma lwokulemererwa okugoberera ebiragiro ebyabaweebwa ekiviriddeko akawuka okwongera okusasaana mu bantu.
Awabudde gavt mu kifo kyokuteekawo omuggalo eyongere ebikozesebwa mu malwaliro, abalwadde bafiibweko.
Era agambye nti wakuwawabira kampuni ezikaka abakozi babwe okugemebwa ekirwadde kya ne zibagoba ku mirimu olwokugaana okwegemesa.
Bannauganda Emitwalo 46623 bebakakwatibwa ekirwadde ate abafudde 362.