Skip to content Skip to footer

Kadaga akirizza empaka z’obubina zigende mu maaso

Bya Damalie Mukhaye

Omukubiriza wa palament Rebecca Kadaga, akirizza abatekateeka empaka zabakazi abobina obunene, zebatuuma Miss Curvy contest zigende mu maaso.

Kadaga okwogera bino abadde asisinkanye, abatesiteesi bempaka zino, ababadde bazze okwemulugunya kungeri entekateeka eno abangi gyebagyogeredde amafukuule.

Bano bamutoloeredde engeri gyebabolebwamu, olwobunene atenga waliwo empaka endala nga Miss Uganda, era ezigenda mu maaso mu mbeera yeemu.

Katai Kadaga asubizza nti agenda kutegezaako palamenti okwemulugunya kwabwe kwebamuwadde.

Kati Anne Mungoma eyaloota ekintu kino aliko byatubulidde, nagamba nti ssi kituufu empaka zino zigenda akutumbula obuseegu.

Empaka zino zakuberaawo ngennaku zomwezi 26th mu April womwaka guno.

Leave a comment

0.0/5