Bya Moses Kyeyune

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yemulugunyizza ku kiwamba nekitta abantu ekisisse mu gwanga.
Kadaga bwabadde ayogerer mu lutuula lwa palamenti akawungeezi kano agambye nti kuno kutyoboola bakyala abataliiiko musango.
Speaker kati atadde gavumenti ku nninga okunyonyola palamenti byebakoze okulwanyuisa ebikolwa bino okubimalawo.
Bino webijidde nga gavumenti mu bbanga eriyise ezze yeyama okulwanyisa obutemu buno okubumalawo, waddenga waliwo okutya nti embeera eno egenda yeyongera.