Bya Joseph Kato
Kalisoliiso wa gavumenti omulamuzi Irene Mulyagonja, aliko abasirikale 200 ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police) banokoddeyo nga betagibwa ku misango gyokujingirira ebiwandiiko.
Okusinziira ku Daily Monitor IGG ayise abasirikale abayingira mu mwaka gwa 2015/16 ne 2014/15 nga kigambibwa ebiwandiiko byebakozesa okuyingira mu poliisi, byali bya jingirizi.
Wabula yye omwogezi wa poliisi mu gwanga Emilian Kayima okunonyererza ku nsonga zino kugenda mu maaso.
Kati kaliisoliiso wa gavumenti atadde ku nninga akulira abakozi mu kitongole kya poliisi okuvaayo alage bulungi ebiwandiiko ebibakwatako.