Bya Ruth Anderah
Waliwo omusubuzi atutte munnamagye Brig. Kasirye Gwanga mu kooti enkulu ngayagala kumuliyirira obukadde 500 olwokwokya tulakita ye.
Bino byaliwo nga 12th August e Lubowa mu division ye Makindye.
Dennis Wakabi Zimba agamba nti yapangisbwa abasajja babiri okwali Andrew Muwonge ne Kassim Sserugo okubasenderako ettaka ku block 269 e Lubowa, nga baali bamugambye nti bebananyini ttaka abatuufu, kyokka bweyatuuka eyo yayita ku lugwanyu, tulakita ye bwebajitekera omuliro.
Wakabi agamba nti teyaweebwa mukisa gwenyonyolako, wabula mu bungenderevu era mu kubalaata okwekitalo Kasirye Gwanga nayonoona tulakita.
Tulakita eyogerwako yali namba UAY 759/T, nga kooti telambika lunnaku lwakuwulirirako musango guno.