Skip to content Skip to footer

Kattikiro ajjukizza ebika ku ssente ze’bibumbe

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bujukizza abebika abatanaleeta nsimbi ezokuzimba ebibumbe ebilina okutekebwa ku luguudo Kabakanjagala mu kaweefube wobwakabaka bwa Buganda okutumbula obulambuzi.

Buli  kika kyasalilwa  obukadde 13 okuzimba ebibumbe ebigenda okuteekebwa ku luguudo Kabakanjagala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yatongozza omulimu gw’okunoonya ssente zino nga mu buli kika mwalondeddwaayo omuntu agenda okukulemberamu omulimu guno, nga baali baaweebwa  nsalesale wa July wabula eyaweddeko.

Minisita Ow’ebyobulambuzi e Mmengo Ritah Namyalo Kisitu ategeezezza nti ebibumbe bigenda kuteekebwa ku kibanja ky’ekika ekyo kye kirina ku luguudo luno.

Wabula ono yenyamidde olwebiika ebimu okulemererwa okusaawo ebibumbe.

Oluguudo Kabakanjagala lwa byafaayo mu Buganda wamu n’oluva e Seguku okutuuka e Naggalabi- Omulangira w’ayita ng’agenda okufuuka Kabaka.

Leave a comment

0.0/5