Bya samuel ssebuliba.
Minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Gen Jejje Odongo akakasiza nga ababaka ba parliament abaakwatidwa akawungezi akayise mu kavuyo omwafiiride omunti bonna police bwbalina.
Ono okuvaamu omwasi kidiridde ababaka abavuganya government okumutabukira nga baagala okumana ababaka okuli owa Kyaddondo East MP Robert Kyagulanyi, gyebakuumirwa okuva olunaku olw’eggulo
Kati minister mukwanukula agambye nti bano babade beefudde basedume, nga bagezaako okulemesa omukulembeze we gwanga okutambula nebatuuka n’okukuba emotokaye amayinja.
Ono agambye nti newankubadde guli gutyo police emaze okunyweza eby’okwerinda mu kitundu kino era mpaawo muntu agenda kutaataganya kulonda kwankya.