Bya Musasai Waffe
Abasibe 12 batolose okuva mu kkomera lye Gbuktu mu disitulikiti ye Koboko, oluvanyuma lwokwmulugunya ku mmere embi gyebabaliisa okumala ebbanga.
Bano basinzizza abakuumi amaanyi nebamenya olugi, nebyokya ensiko okuyingira munda mu gwanga lya DR Congo.
Kati abasibe 4 ku bano bakwatiddwa atenga abalala bayingidde mu gwanga lya Congo nga bakozesa obuwunjuwunju ku nsalo.
Kati abasibe 4 abakwatiddwa, basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wedaala erisooka e Koboko Peter Gukiina, wabula nebategeeza nti babadde bemulugunya entakera ku mmere embi gyebabawa nayenga befuula nampulira zzibi.
Wabula bwabadde ayanukula ku nsonga eno, omwogezi wekitongole kyamakomera Frank Baine, yebuzizza lwaki abasibe abagamba nti bayala basobodde okumenya ekkomera nebabuuka n’ekikomera.