Bya Gertrude Mutyaba
Akulira abalamuzi ba kooti ento e Masaka Deogratius Ssejjemba yeesitudde, nayokera ku kyalo Kasanje mu gombolola ye Kyesiiga mu district ye Masaka, okulambula ettaka erikayanirwa n’omugagga Joseph Bukenya.
Joseph Bukenya yaddukira mu kooti mu mwaka gwa 2009 nawabira abatuuze, bagamba nti beesenza ku ttaka ly’abayindi erya yiika 350, lyalinako obuvunayizbwa okulikuuma.
Omulamuzi Ssejjemba wabula agambye nti, azudde nga Bukenya tamanyi na wa ettaka lino weriyita.
Wano namukadde ow’emyaka 86 Lwanga Munyweza asesezza kooti, bwabadde annyonyola, nti baamuvunaana, atenga ssi mutuuze ku ttaka eryogerwako.
Wabula Joseph Bukenya agambye nti banannyini ttaka Abayindi balyagala, kubanga gavumenti yalibadiza.