Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti enkulu Tadeo Asiimwe alamudde nti omusubuzi Medard Kiconco ye nannyini ttaka omutuufu, erye Senkanyonyi Mpererwe e Lusanja.
Okusinziira ku nnamula esomeddwa ye esomeddwa omuwandiisi wa kooti Sylvia Nabaggala, abatuuze kati bawereddwa ennaku 30 okwamuka ettaka lino.
Mu nnamula eno omulamuzi agambye nti yazudde ngabasenze eboibanja baabigula okuva ku muntu mukyamu Chrispa Bitarabeho, mu kifo kyokugula ku Paul Katabazi Bitarabeho omuntu omutuufu akuuma ettaka lino kulwa kitaabwe.
Omulamuzi agambye nti ettaka lino lisangibwa mu Wakiso Sekanyonyi Mpererwe ssi Kampala nga bwekibadde kiwanuzibwa.
Kati alagidde nekitongole kya KCCA okulambika ensalo entuufu ezekitundu kino, okumalawo okutabulwa.
Omulamuzi yoomu alagidde Kiconco aliyirire abantu 4 ku bantu 17 abasangibwa ku ttaka, kubanga bebatuufu.
Abatuuze 148 okuva mu kitundu kino bebaddukira mu kooti, okuwakanya ekyakolebwa okubasenda mu mwaka gwa 2017.
Kinajjukirwa nti endoliito zatanadika na maanyi, oluvanyuma lwekiragiro kya kooti ekyayisbwa omulamuzi Esther Rebecca Nasambu mu Octoba wa 2017, bweyalagira abantu bano babasende.
Ettaka lino liwerako obugazi bwa yiika 3 nokusoba nga lisangibwa ku Block 206, Plot 671 e Mpererwe.