Bya Sadat Mbogo ne Magembe Sabiiti
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kitera mu gombolola ye Kibalinga mu district ye Mubende, Laddu bwekubye omuvubuka nemutirawo.
Omugenzi ategerekeseko lya Ibra ngatemera mu myaka 30 nga Laddu okumukuba emusanze mu nyumba, mu nkuba etonye mu kiro.
Police e Mubende ejjeewo omulambo negutwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende okwekebejebwa.
Ate namutikwa w’enkuba afudembye mu kiro ekikeesezza olwaleero alese abantu mu district ye Mpigi, nga bafumbya miyagi.
Enkuba esudde amayumba, neyonoona emisiri gye mmere, nga waliwo nebizimbe ebigudde ku ssomero lya St. Anthony P/S e Buwama.
Ssentebe w’egombolola y’e Buwama Muwanga Gregory alajanidde gavumenti eveeyo mu bwangu etaase abaana b’eggwanga kuba kati tebalina webagenda kusomera.