Bya Ruth Anderah
Hassan Male Mabirizi ataddeyo ensonga ze, mu butongole zonna zeyemulugunyako mu nnamula yomusango ogwokuja ekkomo ku myaka, mu kooti ejjulirwamu e Kololo.
Mabirizi awakanya ennamula ya kooti eya Ssemateeka , eyakiriza ekyokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Mabirizi ataddeyo ensonga eziwerako mu buwandiike olutagajjo nemizingo gyempapula 692.
Kati ono ategezezza banamwulire, nti buli kimu ekyetagisa kikoleddwa, nga kati balindiridde Ssabalamuzi we gwanga alonde abalamuzi 7 abagenda okuwlira omusango gwe, gutandike.
Kinnajjukirwa nti abalamuzi balamula nti kyali kikyamu ababaka okweyongeza emyaka okuva ku 5 okudda ku 7, ate nebawagira okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.