CITY HALL
Bya Ruth Anderah
Makanika wamazzi oba plumber avunaniddwa era nasindikibwa ku alimanda e Luzira.
Musa Matovu owemyaka 28 omutuuze we Kyebando mu divisone ye Kawempe, avuiunaniddwa okubba obutole bwassabbuuni 4, obucupa bwa ssabbuuni ekika kya Dettol owamazzi 4, nobukebe bweddagala lyengatto erya Kiwi 4, okuva mu supermarket.
Ono avunaniddwa mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City-Hall Beatrice Kainza ngono amusindise ku alimanda okutuusa nga 31st omwezi guno ogwomunaana oluvanyuma lwokwegaana omusango.
Oludda oluwabi nga lukulembeddwamu Pamela Orogot lutegezezza nti Matovu omusango yaguzza nga 8th omwezi guno wali e Kamwokya- Green Valley zone.
Ono byeyabba byali bibalirirwamu emitwalo gya Uganda 80.