Bya Damali Mukhaye.
Olunaku olwaleero etendekero elya Makerere lweritandika okutikira abaana abasoba mu mitwalo 14,000 , nga gano gematikira ag’omulundi- 68th
Okutikira kuno kugenda kumaala enaku 4, era kutandiise leero kuggwe ku lw’okutaano.
Amyuka akulira etendekro lino Prof Barnabus Nawangwe , agamba nti bano bebaana abakyasinze obungi okutikirwa mu byafaayo bya Makerere bukyanga etendikibwawo.
Abaana abagenda okusooka okutikirwa beebo abasoma eby’obulimi ,eby’enjigiriza, eby’obutonde bwensi , kko nabasomera ebweru we tendekero lino.
Mungeri yeemu etendekero lino era lisuubirwa okubaako ekitiibwa ekya Honorary Doctorate of Laws kyebagenda okuwa eyali mukyala wa Nelson Mandela , nga ono ye Winne Mabdela.