Bya Dmalie Mukhaye.
Oluvanyuma lw’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gye Makerere okufulumya alipota yaako nga eraga nga bwewaaliwo okubba ensimbi okuyitiridde mu tendekero lino, ye amyuka akulira etendekero lino Prof Barnabas Nawangwe ategeezeza nga bwebatadewo akakiiko ak’enjawulo okwetegereza alipoota eno.
Ono agamba nti president bweyamala okufuna alipoota eno yabalagira okwetegereza buli ekiri mu alipota ,byebazudemu babikoleko nga bakwatagenyeeko ne ministry ekola ku by”enjigiriza.
Ono agamba nti akakiiko kano kagenda kwetegereza buli ekiragiddwa mu alipoota eno , bazuule aweetaga okwanguyirwa , kko n’okumanya ministry ekola ku byenjigiriiza weyetaaga okunyonyola
Akakiiko kano kagenda kukulirwa Prof William Bazeyo era nga kasubirwa okukomyaawo alipoota yaako February 2018