Bya Ben Jumbe.
Gavumenti erabudde ebibiina ebivuganya government obutagezaako okwetantaala okutegeka emikolo gyonna egyabwe egy’amefuuga gegwanga.
Okulabula kuno kukoledwa minister akola ku nsonga z’obwapresident Esther Mbayo nga ebula olunaku lumu okutuuka kubikujjuko by’amefuuga eby’okubeerawo olunaku olw’okutaano nga 26th January 2017 .
Minister Mbayo ategezezza nga ebikujjuko by’omwaka guno bwebigenda okutegekebwa ku kisaawe ekya boma mu district eye Arua.
Ono ategezeeza nga emidadi egyiwerera dala 200 bwegigenda okugabibwa .