Bya Ndaye Moses,
Gavt esabye abakozi baayo okukopa bannekolera gyange mungeri gye badukanyamu emirimu gyabwe ngessira baliteeka nyo ku bavubuka
Okusinzira ku minister owebyensimbi Matia Kasaijja, abakozi ba gavt balemererwa okuteeka munkola pulojekiti za gavt kuba bagayaavu
Bino abyogedde bwabadde mu kutongoza entekateeka eyenkulakula eya bannekolera gyange ngentambulidde wansi womulamwa ogugamba nti okwanjala entekateeka ya gavt eye nkulakulana buli muntu agitambulileko.
Ngéno erubiridde kutondawo mirimu eri abavubuka ekimu kubinayamba eggwanga okubulukuka mu byenfuna
Kasaija agambye nti gavt siyakubibiita bakozi baayo abalemeredwa okukola egyabwe bakubonerezebwa.