Bya Prossy Kisakye,
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku byemizannyo mu ggwanga Denis Obua, alajanidde omukulembeze weggwanga ku kyokusala ku mbalirira ku kisaawe kye bye mizannyo.
Bino yabyogeredde ku kisaawe e kololo nga pulezidenti asimbula abaddusi abagenda okukikirira Uganda mu mpaka za Olympics ezigenda okuyindira mu kibuga Tokyo ekya Japan.
Obua yategezeza nti mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi 2021/22, ensimbi eziwera obuwumbi 25 zabasaliddwako nasaba wabeewo ekikolebwa, okulaba nti ebyemizannyo ekikumu ku bitumbudde Uganda mu mawanga age bweru tebisigalira mabega.