Skip to content Skip to footer

Minisitule y’amazzi n’obutonde ekozeeko ebitundu 78%

Bya Prossy Kisakye

Minisitule ey’amazzi n’obutonde bwensi etegezeeza nga bw’esobodde okutukiriza ku bye basuubizza bannauganda mu kisanja kino mu gavumenti ya NRM ne bitundu 78%.

Kino kibikuddwa minisita w’obutonde Sam Cheptoris bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu kampala.

Ono agambye nti mu myaka 3 basobodde okukuuma obutonde okuyita mu kusimba emiti, okulwanyisa abesenza mu ntobazi n’ebirala bingi

Ono agambye nti waliwo n’abanatu 7 abaakwatibwa, nga batyoboola omugga Mpologoma gye buvudeko.

Okusomozebwa kwe basanze, ayogedde ku byapa ebifulumira ku ttaka ly’entobazi ekibakalubiriza okusengula abaliriko n’obutaba nattaka kwebasobola okukolera eby’enkulankulana

Leave a comment

0.0/5