Bya Franklin Draku
Minister akola ku nsonga z’omunda mu gwanga omukulu Obiga Kania avudeyo n’awagira ekya Police okukozesa amaanyi nga egumbulula abawakanya eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze .
Ono agamba nti olumu Police ewalirizibwa okukozesa maanyi amangi okukakanya abantu nga bano, nadala nga bayise webandikomye.
Minister alabudde nti abantu tebasuubira nti bagenda kukozesa akakisa kano okokwebuza kubanna-uganda, ate batanule okuzza emisango, kko n’okumalako abantu emirembe.
Ono agamba nti Police kyeyaze e kasubi ne Rukungiri ky’ekigwana era nga akiwagira ye nga akulira Ministry police mwegwa.
