MASAKA
Bya Gertrude Mutyaba
Waliwo emmotoka ya poliisi number UP–2583 ngebadde eva Kyotera okudda e Mutukula etomedde omuntu n’emuttirawo mbulaga nga kati eyabadde ajivuga ali mu kunoonyerezebwako.
Omwogezi wa poliisi mu bendo-bendo lya Masaka Lameck Kigozi ategeezezza ng’omusirikale wabwe amanyiddwa nga Rajab Kwakwiyise bweyatomedde Lawrence Siima myaka 54 nga yabadde mutuuze w’e Siima, gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera ngono yabadde avuga emmwanyi ku piki piki ye.
Afande Kigozi agamba nti omugenzi yeyabadde mu nsobi olw’ensonga nti emmotoka weyamusangidde yabadde mu kkubo wabulanga bakyanonyererza.
bakusoya omuserikale ki ekyamulemesezza okutaakiriza