By Ritah Kemigisa.
Olunaku olwaleero omulambo gw’omugenzi Moses Ssekibogo abadde amanyiddwa nga Mowzey Radio gwakutwalibwa wali ku National Theater abantu ebenjawulo webagenda okumulabirako.
Kinajukirwa nti olunaku olw’eggulo Mowzey Radio yafiiride wano ku Case hospital gyabadde ajanjbibwa obuvune bweyafunira wali ku baala emanyiddwa nga ”The Ntebe”.
Okusinziira ku ssentebe w’akakiiko akategeka amaziika nga ono ye Balaam Barugahara, okusabira omugenzi kugenda kubeera wali ku lutiko e Rubaga ku saawa munana
Okumuziika kwakubaawo lunaku lwankya wali e Nakawuka.