Bya Ruth Anderah
Munnamawulire wa UBC Deogratius Peter Otai atutte omubaka wa Uganda mu gwanga lya Burundi Rt. Major Gen Matayo Kyaligonza nabakuumi be 2 mu kooti enkulu mu Kampala olwokumukuba, nga kati ayagala bamuliyirire obukadde 400.
Otai agamba nti yeyakwata akatambi akagenda kasasaana akalaga Kyaligonza ngakuba omusirikale wa poliisi Esther Namaganda nga February 24th 2019 ku nkulungo e Seeta.
Munamawulire agamba nti mu kanyolagano akao naye baamukuba.
Kati abakuumi ba Kyaligonza bawabidde kuliko CPl Peter Bushindiki ne John Robert Okurut saako ne ssabawoererza wa gavumenti.
Otai ngali wamau nekitongle ekitaba banamawulire ekya Uganda Journalist Association ayise mu banamateeka aba Kiiza and Company Advocates ngayagala kooti ekake Kyaligonza, okumuliyirira kubanga kyeyakola kwali kulinyirira ddembe lye.