Skip to content Skip to footer

Munnyuganda attiddwa mu South Sudan

Bya JULIUS OCUNGI

Omudereva munn-Uganda akubiddwa amasasi agamusse, wakati mu kulwanagana mu gwanga lya South Sudan.

Omugenzi ye Samu Nyonjeza Yako emyaka 28, ngabadde mukozi nekitongole kya Pan Afric Impex [U] Ltd.

Ono kitegezeddwa nti baamutidde mu kitundu kye Rumbek mu ssza lye, Lakes State, bweyabadde yakatuusa ebymagauzi byeyabadde atutte mu gwanga eryo.

Omugenzi yabadde mu mmtoka kika kya trailer namba UBD 099/X UBD 153/Q.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa, Jimmy Patrick Okema akaksizza okutibw akwomusajja ono.

Wabula bbo abaamusse agambye nti tebaterekese.

Ate amwana owemyka 9 munansi wa South Sudan agudde mu kidiba kya woteeri nafa, wali mu district ye Gulu.

Omugenzi ye Bol-Garang Diar ngabadde muyizi wa P1 ku ssomero lya Credo Daycare Nursery and P/S mu Laroo Division.

Bino bibadde ku Bomah Hotel mu munsipaali ye Gulu.

Ono yoomu ku bayizi 82 ababadde baleteddwa, nga bulijjo okuwga.

Omugenzi ne familye ye baali badduka kulwnagana mu gwanga lyabwe, nebewogoma muno.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema, akaksizza enjega eno.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5