Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze weggwanga YK Museveni alangiridde omuggalo okwetoloola eggwanga lyonna.
Kino kidiridde omuwendo gwa bantu abakwatibwa ekirwadde kya ssenyigga omukambwe okweyongera mu ggwanga ne bitundu 17%,
Mu kwogerako eri eggwanga ekiro ekiyise, mu kawefube owokutema empenda ku kutaasa bannauganda ku kirwadde ekifuuse nnamulanda, pulezidenti yagadde entambula eyolukale ne yobwannanyini mu zidisitulikiti okumala ennaku 42
Yagambye kino kyakuyamba okukendeza kukutambuza ekirwadde.
Museveni yakkiriza ebimotoka ebyetika ebyamaguzi byokka okutambula ate nga abalimu tebasuka bantu 2
Era yaweze ababodaboda okudamu okwetika abasabaze na balagira kwetika migugu gyokka okukgyako nokutwala abalwadde mu malwaliro nga bafunye olukusa okuva mu bobuyinza
Yakubiriza bannauganda okugondera ebiragiro ebyayisibwa basobole okusimatuka ekirwadde kino
Museveni yategezeza nti bino ebiragiro bya kaseera buseera ebigenderera okutaasa eggwanga
Yalagidde ne kifo kya kikuubo ne bifo ebirala omukunganira abantu abangi biggalwe wabula amadduka agatunda ebyalejjalejja nobutale bwemmere namakolero byakusigala nga bikola
Yawadde amagezi abokola mu butale namakolero okusula mu bifo byabwe nga bwebakola ku muggalo ogwasooka
Ekiseera kya kafyu yakifunziza okudda ku ssaawa emu eyakawungeezi okutuusa ssaawa 11 nga busasaana.