Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni azeemu okukuba omyulanga, okuzza kampuni ye nnyonyi eyamawanga agawamu mu mukago gw’obuvanjuba bwabadugavu, eya East African airline.
okusaba kuno akukoledde ku mukolo kwatongolezza kampuni ye gwanga eye nyonyi eya Uganda airlines, ogubadde ku kisaawe Entebbe.
Agambye nti betaaga okukolera awamu, nga kyekimu ku bizibu byebasanze mu kuzukusa kampuni eno eyali yagwa, emyaka 20 emabega.
Alaze essuubi nti ku mulundi guno Uganda airlines tegenda kugwa, wabula yabuerawo okusajjakula mu kusabaza abantu.
Agambye nti bana-Uganda babaddenga basasaanya obukadde bwa $ 400 mu kutambula, ngebisale bino bigenda kukka.