Skip to content Skip to footer

Nnamutikwa wénkuba alese abémubende bakaaba

Bya Magembe Ssabiiti,

Nnamutikwa wénkuba ebademu kibuyaga owamanyi n’omuzira esanyizawo ebirime kwosa namayumba mu magombolola agenjawulo mu Mubende municipality

Enkuba eno esinze kosa  batuuze ku byalo bitaano  okuli, Kyamukoona, Kijojolo,Kibira,Kyewanise ne Kibutamu ng’eno ensuku zisigadde ku ttaka saako ebirime omuli Kasooli ne Bijanjalo byona bisanyizidwawo omuzira ekyeralikirizza abatuuze .

Mayor wa South Division Kasigazi Beatress asabye government okusitukiramu okuddukirira abantu bano ne mmere omuli akawunga ne bijanjalo basobole okufuna eky’okulya n’okubakwasizako mukuzawo amayumba agononese.

Mungeri yemu ayagala government ekwasizeko abantu bano nga ebawa ensigo basobole okuddamu okusimba nga enkuba ekyaliyo kuba ebirime byona byebasimba omuli Kasooli ne Bijanjalo enkuba ebisanyizawo.

Leave a comment

0.0/5