Bya Ritah Kemigisa
Abavuganya gvumenti aba National Unity Platform baliko file, omujudde empapula okuli ebyava mu kulonda okwaliwo, nga 14 January zebalaze.
Kuno kuliko ebyava mu kulonda kwa bonna, mu bifo ebyenjawulo, ngebibalo byoleka nti ddala obuwnaguzi bwabwe bwabbibwa.
Bwabadde ayogera ne bananmwulire, Robert Kyagulanyi agambye nti buno bwebumu ku bujulizi obwaganiddwa kooti ensukulumu, nga byebababagudde nokujjayo omusango gwabadde yawaaba ngawakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni.
Kyagulanyi agambye nti basazeewo, bino okubiraga banna-Uganda besalirewo.
Kati alangirirdde okwekalakaadsa, wabulanga nga kwamirembe mungeri zonna ezisoboka.
Okwekalakaasa kuno agambye nti kwamirembe, nga temuli bissi na butabanguko.