Bya Ivan Ssenabulya
Obulabirizzi bwe Mukono bwenyamivu olwebikolwa byobusamize nobulogo ebyeyongedde mu kitundu.
Omulabirizzi James William Ssebagala bwabadde akubirizza olukiiko lwobulabirizi olugalawo omwaka agambye nti obusamize kyekimu ku bisomoza ebisangiddwa mu mwaka
okuyimirira nga betengeredde kubanga kizuliddwa nti ate abamu oluva mu kaniisa nga beyuuna amasabo.
Asabye abawereza ba mukama mu bulabirizi buno okwongera okunyikiza enjiiri kubanga egwanga lyandisanga akaseera akazibu singa omusingi gwediini gugayalirwa.