Skip to content Skip to footer

Obutakanya bwa Mutebile ne Mulyagonja bwakukosa ebyenfuna

Bya Tajuba Paul

File Photo: Kasaija nga yogeera

Minister webyensimbi Matia Kasaija alabudde nti obutakkanya bwa gavana wa Bank enkulu Emmanuel Tumusiime Mutebile ne kalisoliiso wa gavumenti, omulamuzi Irene Mulyagonja, bwandikosa ebyenfuna bye gwanga.

Kasaija bwabadde ayogerako ne Daily Monitor oluvanyuma lwensisinkano nabekitongole kya Forum for Women in Democracy mu Kampala, bwebabadde bawa nedowooza zaabwe ku mbalirira ye gwanga agambye nti entalo zino tezetagisa.

Ategezeza nti akyebuuza lwaki abantu bano ababiri tebatuula nebogera mu kukaanya.

Bino byonna bayadirira Mutebile okukalira mu kalisoliiso nga bwatalina buyinza kumunonyerezaako ku nkyukakyuka zeyakola mu bakozi.

Yye Justine Bagyenda eyali akulira banka ezebyobusubuzi mu banka enkulu, nokutuusa kati akayagaanye okuwaayo wofiisi.

Okusaba kwa Kasija wekujidde, bano okukaanya nga Mutebile ne Mulyagonja basisinknaye omukulembeze we gwanga era ku nsonga yeemu okutabagana.

Leave a comment

0.0/5