Skip to content Skip to footer

Ogwa Sodo gulamuddwa

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala etegezeza nti ekye kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM obutasimbawo muntu kuvuganya ku kifo kyomubaka wa palamenti akikirira abé Mawogola North mu disitulikiti yé  Ssembabule bwekitali kituufu.

Kino kyadirira Sodo Kaguta okudukira mu kkooti nga awakanya abakulu mu kibiina okugaana okumulangoirira nga kandidenti waabwe mu kitundu ekyo

Okusinzira ku bujjulizi obutereddwa mu maaso ga balamuzi okuli Musa Sekaana, Isaac Kyagaba ne Ahmed Kalule Mukasa, ekyokugaana Sodo okuvuganya oluvanyuma lwa munne bwebali bavuganya mu kamyufu kekibiina Shartis Kuteesa Musherure tekyali mu mateeka ga kibiina yadde ageggwanga

Wabula omulamuzi Sekaana agambye nti tebasobola kukaka NRM kukakasa Sodo kuba Sodo ne munne Musherure basalawo kuvuganya kubwannamunigina

Wabula Musherure ne kibiina kya NRM omulamuzi Sekaana abalagidde okuliyirira Sodo ensimbi zasasanyiriza mu musango guno

Leave a comment

0.0/5