Skip to content Skip to footer

Okulayira kugenda kukomekerezebwa olwaleero

Bya Ritah Kemigisa

Okulayira kwababaka ba palamenti empya eyomulundi ogwe 11 okwatandika ku Bbalaza, kugenda kukomekerezebwa olwaleero.

Kati oluvanyuma lwokulayira, ababaka bakutuula wiiki ejja ku Bbalaza nga 24 May okulonda sipiika nomumyuka we.

Ate omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sheema, Rosemary Nyakikongoro yeyamye nti agenda kukola nnyo okwongera ku nyingiza yamaka mu bantu be.

Nyakikongoro yoomu ku babaka 133 abalayidde olunnaku lwe ggulo, ngababka 398 bebakalayira ku babaka 529 abagenda okukiika mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11.

Nyakikongoro agambye nti kikulu nnyo abantu okwongera ku nnyingiza, okusobola okubeera obulungi.

Mu birala byagenda okusimbako amannyo, agambye yensonga yobujanjabi bwaba nakabutuzi, ayagala bulongooke.

Leave a comment

0.0/5