Skip to content Skip to footer

Okulonda kwe Iganga kutandise.

Bya Ben Jumbe.

Wetwegerera nga abalonzi be Iganga baatandise okukuba akalulu , mukaweefube w’okujuza  ekifo ky’omubaka omukyala owa district eno.

Kinajukirwa nti ekifo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lw’okufa kwa Hailat Khauda eyali omubaka waabwe, nga ono yafa mu mwezi gw’akutaano.

Twogedeeko n’ayogerera akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa amakya ga leero n’agamba nti bbo nga akakiiko baakoze ogwabwe, buli kyetagisa mukulonda kyatuusedda ,kale nga omulimo oguliwo gw’abatuuze kukuba kalulu.

Abategeera ensonga bagamba nti embiranye ey’amaanyi eri wakati wa munna FDC Mariam Natale Naigaga  n’owa NRM’s Brenda Asinde, songa abalala abali mu lw’okano kuliko abagidde kubwanamunigina nga Mariam Nakato, Aziza Kakerewe ne  Olivia Kwagala Mawanda.

Leave a comment

0.0/5