Bya Prossy Kisakye,
Okulonda kwa 2021 kwogedwako nga okutalimu mazima na bwenkanya yadde nga abamu bakulaba nga okwali okwemirembe
Bino bifulumidde mu alipoota etuumiddwa engeri okulonda okwakagwa gye kwakosamu obwenkanya ne nfuga eyamateeka.
Alipoota eno ekoledwa ekibiina kya bannamateeka ki Legal Aid service providers Network (LAPSNET).
Bwabadde afulumya alipoota eno akulira ekibiina kino Sylvia Namubiru, agambye nti okulonda kuno kwalimu ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu ntoko
Anokodeyo ekya bannauganda okumlibwako eddembe lyabwe mu biseera ngokulonda tekunabaawo, nga kutuuse noluvanyuma nga kuwedde nga muno mwalimu okuwamba abantu, okubasiba mu ngeri etali mu mateeka
Namubiru atangaziza nti eddembe eryókweyogerera, okukungana nalyo lya tyobolwa nyo nga bannamawulire ne bannabyabufuzi bangi balabwako nga batulugunyizibwa.
Ono agamba nti bino byonna biraga nti okulonda tekwali kwa mazima yadde okubaawo obwenkanya
Munnamateeka Luyimbazi Nalukoola ye agamba nti bannabyabufuzi tebakirizibwa nakwebuza ku balonzi nga bwekirambikidwa ssemateeka
