Bya Benjamin Jumbe
Minisitule yebyokwerinda byegwanga nabazirwanako, olwaleero egenda kutandika okutereeza enkalala zabazirwanako nebibakwatako.
Entekateeka eno egenda kutandika nga 17 January, lwerwaleero okutukira ddala ngennaku z’omwezi 4 February, 2022.
Muno bagenda kutunuliira ebikwata ku nsako yaabwe etekeddwa okubaweebwa, nabenganda zaabwe eri abo abaafa.
Wabaddewo omujuzo gwa file omutwalo 1 mu 1,000 awamu ku file emitwalo 6 mu 8,000 ezikwata ku bazirwanako abatekeddwa okusasulwa.
Minisita owabazirwanako Oleru Huda agambye nti balubiridde naabo abaddukanya ebyobugagga bwa bagenzi.
Minisitule yatondawo akakiiko akenjawulo, akagenda okukola omulimu guno.