Skip to content Skip to footer

Okuwandiisa emmundu kutandise

Bya Sadat Mbogo

Okuwandiisa ebyokulwanyisa, mu kampuni enkuumi ezobwananyini nabantu ssekinoomu kutandise mu bitundu bya Katonga.

Okuwandiisa kuno kuli mu district ye Mpigi, Butambala ne Gomba, nga kuli ku kitebbe kya Town Council ye Mpigi.

Okusinziira ku Phillip Mukasa ayogerera poliisi mu kitundu ekyo, entekateeka eno yakukulungula ennaku 2.

Agambye nti mu kino batekesa mu nkola ekiragiro kyomukulembeze we gwanga, kyeyaisa omwaka oghuwedde okuwandiisa emmmundu nebinkukumu, okulwanyisa obumeneyi bwamateeka ngobutemu.

Leave a comment

0.0/5