Skip to content Skip to footer

Okuwulira ogwa-Bizonti kwakutandika nga 10 Juuni

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi we’daala erisooka mu kooti ya Buganda Road Asuman Muhumuza ataddewo olunnaku olwanga 10 June 2021 okutandika okuwuliriza omusango oguvunanibwa ba kazanyirizi aba-Bizonto.

Bizonto bavunanibwa okutumbula nokuseera mu busosoze mu mawanga.

Abavunanwa kuliko Julius Serwanja owemyaka, Mbabali Maliseeri wa 35, Gold Ki-Matono wamyaka 45 ne Peter Ssabakaki owemyaka 35

Oludda oluwaabi lugamba nti bano omusango baaguzza mu June, mu mwaka gwa 2020 nga basinziira mu Kampala, okukola akatambi akagenda akasasana nga kasiiga obukyayi mu bantu.

Leave a comment

0.0/5