Skip to content Skip to footer

Olukalala lwaba minisita lusomoddwa

Bya Daily Monitor

Daily Monitor olwaleero awandiise nti waliwo olukalala lwababantu abagenda okulondebwa kubwa minisita olwasomoddwa.

Bino webijidde ngegwanga likyalindiridde omukulembeze we’gwanga aokulanagirira olukiiko lwaba minisita bagenda okukola nabo.

Abamu ku balabikidde ku lukalala luno kuliko Lucy Nakobe akulira emirimu mu maka gobwa pulezidenti nti yandirondebwa ngomumyuka w’omukulembeze we’gwanga, Ruth Nankabirwa ne Justine Kasule Lumumba omu ku bbo yandirondebwa nga minisita webyokwerinda byegwanga oba Ssabaminista, abadde Ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda yandirondebwa nga Ssabawandiisi wa NRM.

Munnabyanfuna Ramathan Goobi kigambibwa nti yandigwa mu bintu, ku kifo kya minisita webyensimbi, Adonia Ayebare ku kifo kya minisita wensonga ze bweru we’gwanga, Jesaca Alupo ku kifo kya minister wekikulkyabanatu, Frank Tumwebaze nampala wa gavumenti.

Abalala abatunuliddwa abajidde ku lukalala luno waddenga ebifo byabwe tebinakaksibwa kuliko John Patrick Amama Mbabazi, Thomas Tayebwa, David Bahati, Judith Nbakooba nabalala.

Olunnaku lweggulo omukulembeze we’gwanga yategezezza akabondo ka NRM nti kabineti yawedde era wakutandika nokulanagirira omumyuka we ne Ssabaminista we’gwanga.

Ono era yasabye ekibiina kimukirize ayongereko ekifo kya minisita omubeezi kimu, okuweza omuwendo gwaba minisita 80.

Leave a comment

0.0/5