Bya Damali Mukhaye.
Ekitongole ekikola ku bibuuzo ekya UNEB kifulumizza olukangaga olugenda okugobererwa abaana nga bakola ebibuuzo eby’akamalirizo omwaka guno ku mitendera egy’enjawolo.
Olukangaga luno lulaze nga abaana aba S,4 bwebagenda okutandika nga 16 November , S.6 etandike mu sabiiti ey’okubiri eya December ate p.7 etuule nga 5-6 November.
Twogedeko ne ssabawandiisi w’ekitongole kino Daniel Odongo naagamba nti entekateeka zigenda mu maaso okulaba nga abaana bano batuula ebibuuzo byabwe.