Bya Shamim Nateebwa
Okulumbibwa kwolubiri lwobwakaba bwa Buganda e Mengo kwaza nnyo Obuganda emabega nga kyekisera abantu ba Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 okukola ennyo okuzza Buganda ku ntiiko.
Bino byebimu ku bigambo bya Supreme mufti wa Uganda Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa bwabadde akulembeddemu okusala okwokujjukira emyaka 51 bukyanga eyali omukulembeze we gwanga Milton Obote alumba olubiri lwa Ssabasajja.
Omutanda yasiima eddini y’obuyisiraamu okulemberamu okusaba kwemikolo gino omwak guno.
Minister webyobuwangwa nennono mu bwakabaka bwa Buganda Oweki. Denis Walusimbi agambye nti olunaku luno lwamuwendo naddala mu kwejjukanya ebyaliiwo nga Sekabaka Muteesa 11 okusimatuka okutibwa.