Bya Ben Jumbe.
Omubaka we Rubaga North Moses Kasibante alazze obwenyamivu olwa kyayise okusooba kwa Police mungeri gyekwatamu ensonga zabantu ababwandiikira ebibaluwa nga babategeeza nga bwebagenda okuttibwa.
Ono okuvaayo kidiridde abantu abatanamanyika okuwandiika olukalala lw’abantu abawerako okwali ne Kasibante nga bategeeza nga bwebagenda kubatta akadde konna
Ono agamba nti ne sabiiti ewedde waliwo omuntu eyamusuulira ebbaluwa endala nga amutegeeza nga bwagenda okumutta, era n’ategeeza police kyoka nakaakano mpaawo yali amuyambye.
Wabula ono agambye nti ye nga omuntu teyeetaga bukuumi , wabula kyayagala bannayuganda bonna bakuumibwe kubanga nabo bali mubulabe bw’okuttibwa.