Bya Gertrude Mutyaba
Omubaka wa Kalungu west mu Palamenti Joseph Ssewungu, atabukidde ababaka banne bwebakikirira district eno, olwokwesiba ku masanyalaze agagenda okuletebwa mu kitundu, nga buli omu agamba nti yeyagasase.
Gavumenti okuyita mu kitongole kya Rural Electrification, baatandika okutambuza amasannyalaze okwetoloola ebyalo ebiri mu Kalungu, nga minister webyobulimi era, omubaka wa Kalungu East Vincent Bamulangaki Ssempijja yeyagatongoza.
Wabula Ssewungu agambye nti kuno, kwesiba ku munyago gwebatayigga, nagamba nti yewoma omutwe mu masanyalaze gano.