Bya Juliet Nalwoga
Poliisi ebakanye nomuyiggo ku munansi wa Germany Glacer Dilen owemyaka 70 ne mukayala we Ingrid Berry nga bavunanaibwa kukabawaza baana.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga, 2 bano balina ekibiina kyobwnaakyewa ki Ssese humanitarian services, nga basinziira aku kizinga e Bugala, wabulanga eno, omusajja ono abaddenga yeganzikaku bwana obuto.
Poliisi egamba nti erina emisango 11 gyegulwawo, oluvanyuma lwokwemulugunmya okuva mu bantu abenjawulo.