Skip to content Skip to footer

Omukuumi bamusindise Luzira lw’akubba mmundu

Bya Rutrh Anderah

Omukumuumi mu kitongole eky’obwanannyini Pyramid Security Group asindikiddwa ku alimanda e Luzira olwokubba emmundu.

Raymond Onyango owemyaka 32 alabiseeko mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku City hall, Patrick Talisuna nayegaana.

Kigambibwa nti Onyango nga March 7th 2019 ku wofiisi zekitongole kya Pyramid Security Group Ltd e Ntinda, yabba emmundu kika kya pasitoola namasasi 5.

Omusango guno gwakuddamu okusomebwa nga April 11th, nga kitegezeddwa nti okunonyererza kwa poliisi kukyagenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5